Proverbs 30

Ebigambo ba Aguli

1Bino bye bigambo bya Aguli mutabani wa Yake; obubaka bwe yawa bwe buno:

Bw’ati omusajja ono bwe yagamba Isiyeri, Isyeri ono ne Ukali.
2Ddala Ayi Katonda wange nze nsinga obutategeera,
sirina kutegeera kwa bantu.
3 aSiyize magezi,
so n’oyo Omutukuvu simumanyi.
4 bAni eyali alinnye mu ggulu n’akka?
Ani eyali akuŋŋaanyiza empewo mu kibatu ky’engalo ze?
Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye?
Ani eyatonda enkomerero zonna ez’ensi?
Erinnya lye y’ani, ne mutabani we y’ani?
Mbulira obanga obimanyi.

5 cBuli kigambo kya Katonda kya mazima,
era aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 dToyongeranga ku bigambo bye,
alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.

7Ebintu bibiri bye nkusaba; Ayi Mukama,
tobinnyimanga nga sinnafa:
8 eEbigambo eby’obutaliimu n’eby’obulimba binteeke wala,
ate era tonjavuwazanga wadde okungaggawaza,
naye ndiisanga emmere eya buli lunaku.
9 fNneme okukkutanga ne nkwegaana
ne njogera nti, “Mukama ye y’ani?”
Era nnemenga okuba omwavu ne nziba,
ne nvumisa erinnya lya Katonda wange.

10Tosekeetereranga muweereza eri mukama we,
alemenga okukukolimira, naawe omusango ne gukusinga.

11 gWaliwo abo abakolimira bakitaabwe
ne batasabira na bannyaabwe mukisa;
12 habo abeeraba ng’abatuukirivu bo mu maaso gaabwe,
ate nga tebanaazibwangako bibi byabwe.
13 iWaliwo abo ab’amalala amayitirivu,
abatunuza okwemanya okw’ekitalo,
14 jn’ebeerayo abo abalina amannyo agali ng’ebitala,
n’emba zaabwe nga zirimu ebiso,
okusaanyaawo abaavu mu nsi,
n’abo abali mu kwetaaga.

15 kEkinoso kirina bawala baakyo babiri
abaleekaana nti, “Mpa! mpa!”

Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta,
weewaawo bina ebitagamba nti, “Matidde,”
16 lAmagombe,
olubuto olugumba,
ettaka eritakutta mazzi,
n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!”

17 mEriiso ly’oyo anyooma kitaawe,
era n’atagondera nnyina,
liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,
ne liriibwa ensega.

18Waliwo ebigambo bisatu eby’ekitalo ennyo gye ndi,
weewaawo bina bye sitegeera:
19Empungu engeri gye yeeyisaamu mu bbanga,
n’omusota engeri gye gwewalulamu wakati mu mayinja,
n’ekyombo gye kiseeyeeyamu ku nnyanja,
n’engeri omusajja gye yeeyisaamu ng’ali n’embeerera.

20 nBw’ati bwe yeeyisa omukazi omwenzi:
alya n’asiimuula emimwa gye
n’agamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”

21Ensi ekankanira wansi w’ebintu bisatu
weewaawo bina:
22 oomuweereza bw’afuuka kabaka,
n’omusirusiru bw’akutta emmere;
23n’omukazi eyadibira mu ddya;
n’omuweereza omuwala bw’afumbirwa bba wa mugole we.

24Waliwo ebintu ebitono bina ku nsi,
ebirina amagezi amangi ennyo.
25 pEnkolooto bye biwuka ebitalina maanyi mangi,
naye byeterekera emmere yaabyo mu kyeya;
26 qobumyu busolo bunafu
naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 renzige tezirina kabaka,
kyokka zitabaala zonna mu bibiina byazo;
28omunya oyinza okugukwasa engalo,
naye mu mbiri za bakabaka gusangibwamu.

29Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kitiibwa nga bitambula,
weewaawo bina ebitambulira mu kitiibwa:
30empologoma esinga ensolo zonna amaanyi era kabaka waazo, so tewali gy’esegulira yonna;
31sseggwanga,
n’embuzi ennume,
ne kabaka eyeetooloddwa eggye lye.

32 sBw’oba ng’obadde okoze eby’obusirusiru ne weegulumiza,
obanga obadde oteekateeka okukola ebibi,
weekomeko weekwate ku mumwa.
33Kubanga okusunda amata kuzaala omuzigo,
n’okunyiga ennyindo kuleeta omusaayi,
okutankuula obusungu, bwe kutyo kuleeta entalo.
Copyright information for LugEEEE